David Holland

Amazima amatuufu gali nti nga tuyita mubulamu nga abakulisitayo tugenda okudukira eri abantu abatatwagala era abayinza okututusako obukosefu. Kino tekiyinza kusanyusa, naye bwetulaba entegeka ya Katonda nebigendererwa bye eri obulamu bwafe, tuyinza okubitwala mumaaso netutafaayo kubyo.

Kunsi kuliko amaka 2: amaka ga Setani namaka ga Katonda: bino biri mubwakabaka bwamirundi 2: obwakabaka bwekizikiza nobwakabaka bwekitangaala: “Twebaze kitaffe , oyo eyatusumulula era natuwalulira gyaali okutujja mubufuge bwekizikiza natukyusiza mu bwakabaka bwomwanawe mukwagala,” (Bak. 1:13 Amp).

Obwakabaka 2 mubutufu buli mulutalo.

Setani ye: “mulangira wamaanyi gomubanga, omwoyo ogukolera mu baana bobujeemu,” ( Bef. 2:2 ).

Muntalo zaffe ezomwoyo nomubi: tetumegana namubiri namusaayi (okusomooza omuntu alabika), naye nabalangira abakulu abafuga ensi eyekizikiza kyakaakano, nga twanganga emyoyo gyamanyi gyekibi agomubwengula, (Bef. 6:12 Amp.).

Emabega womuntu oyo atagumikirizika mumaka oba mukaamawo omubi oyo gwokolera, waliyo emizimu egikolerayo egyagala okuzikiriza obulamu bwo. Emyoyo, nga ojeeko abantu gyo gyenyini, bebalabe benyini.

Omuntu yena kuffe ayagala: “okubera mubulamu obwobwakatonda ajja kubonabona nokuyiganyizibwa,” (2 Tim. 3:12).

Yesu mwenyini yawaayo ekigambo ekifanana nakino eri abayigirizwa be: “munsi mulina ebibonobono, nokugezesebwa, enaku nokumalibwamu amaanyi; naye mugumire kunze ( mudemu amanyi, mubeere bamanyi, bamativu, abatabusabusa)! Kubanga nze mpangude ensi era ngimazeemu amaanyi obutabakosa era ngibawangulide,” ( Yok.16:33 Amp.).

Mubyawandikibwa tusoma kubasaja bakatonda bangi nabakazi abayisibwa obubi nokuyiganyizibwa. Ekisokerwako ekyokulabirako Daudi nga asisinkana Goliyasi ne yekosofati nga asisinkana egye rye’omukago abamoabu naba Amoni.

Katulabe kyetuyinza okuyiga okuva kubasaja bano 2 basajja ba Katonda era nengeri gyebawangulamu abalabe baabwe.

1 Musamwiri 17:46 Daudi yayogera nobuvumu eri nagwano omufirisuti: “ leero mukama anakugabula mumukono gwange; era naakukuba nenkujako omutwe gwo; era naagabira enyinyi ezomu bbanga nensolo ezomu nsinko emirambo egye eggye erya Abafirisuti, ensi zona zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri.

Olwebigambo bya Daudi ebyubunabi Goliyasi yali mufu newankubade nga tanakubibwa na Jinja nakutemebwaako mutwe nekitala.

Daudi yamanya nga mulimu amaanyi mubigambo byokukiriza byeyalangirira. Yalangirira ebinaava mukulwana newankubade kwali tekunatandika. Ekyo yakimanya. “Okufa nubulamu byaali mumaanyi golulimi lwe,” (Nge. 18:21). Ekyo nakyo yakimanya “onolangiriranga ekintu nekinywezebwa gyoli,” (Yob. 22:28).

Nagwano teyalina mukisa.

Mungeri yemu Yekosofaati bweya yanganga egye ryabagwira eryamutabaala,yawuliliza ebigambo bya Yakaziyeeri: Temutya so temukengererwa olwe’egye lino eddene, kubanga “olutalo sirwamwe naye lwa mukama,” (2 Byom. 20:15).

Olwokukiriza kabaka: yalondera mukama abayimbi balyoke batendereze obulungi bwe obutukuvu bwe obwafuluma nebutuuka mu gye, era bwebatandika okuyimba mukama natekawo abateezi era abalabe nebatandika ekwetingana bokanaboka, (2 Byom. 20: 21,22).

Ekyigambo kya nabbi kyaakyusa enteekateeka yona.

Yekosofaati nabaayimbi bajaguliza amaanyi gakatonda newankubade nga olutalo lwali telunatandika.

Katudeyo kulugero olwobuwanguzi bwa Daudi. Amazima gaagano wano. Mumaaso ga Goliyasi, Daudi yali musumba nga alabirira endiga za kitaawe. Yali muntu atamanyidwa. Naye nga awangudde yawebwa muwala wa kabaka okumufumbirwa era nafuuka omu kubomunyumba ya kabaka.

Lwaki? Kubanga yali awangude omulabe we gwanga nagwano omufirisuuti.

Embala za Baibuli zino zituyamba zitya mubulamu bwaffe enyukuta ezeda neda?

Bwetusoma ekitabo kyokubikulirwa, tulaba nti Katonda yatuma ababaka bamalayika eri ekanisa 7. Buli kaseera mwabangamu ebigambo ebitereeza ebyali byetagisa okugondera, naye buli kaseera Katonda yasubizanga eri bekikwatako abakiriza.

Eri Effeso: “oyo awangula ndimuwa okulya kumuti ogwo’bulamu,” (Bef. 2:7).

Eri Sumuna: “oyo awangula talilumwa nate kufa kwakubiri,” (Kub. 2:11).

Eri Perugamo:“Eri oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa,” (Kub.2:17).

Eri Suwatira: “Eri oyo awangula nakuuma ekigambo kyange okutuusa enkomerero, ndimuwa amaanyi kumawanga,” (Kub.2:26).

Eri Saadi: “Oyo awangula, alyambazibwa engoye enjeru so sirisangula linya lye nakatono mukitabo kyobulamu, era ndyatula erinya lye mumaaso ga kitange ne mumaaso ga bamalayika be,” ( Kub. 3:5).

Eri Firaderufiya: “awangula ndumufuula empagi mukanisa yakatonda wage so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinya lya Katonda wange, nerinya lye kibuga kya Katonda wange,” ( Kub. 3:12).

Eri Lawodikiya: “Awangula ndimuwa okutuula wamu nange kuntebe yange eyobwakabaka era nga nange bwenawangula nentuula wamu nekitange kuntebe ye eyobwakabaka,”( Kub. 3:21).

Kuwandiika buwandiisi ebisuubizo bino okukusikiriza obutabivaako.

Wali okyetegereza nti ebisuubizo ebikulu bino ebyobugabirizi, obukuumi nokubeerawo kwe byawebwa ekika kimu ekyabakiriza ekibiina ekyenjawulo ekya’bakulisitayo.

Bayitibwa abawanguzi.

Kele kati okubeera omuwanguzi otekwa okuba nga online abalabe bewayanganga nobawangula. Daudi yawangula Empologoma ne Dubu bweyali nga akyalunda endiga zakitaawe nga akyaali mulenzi muto. Oluvanyuma nawangula nagwano.

Yesu yawangula okufa na’magombe bweyazukira. Mubutufu: “atekwa okufuga okutuusa lwateese abalabe be wansi webigere bye” (1 Kol.15:25,26).

Kakano kati olwa ffe, nabalabe bafe betusisinkana mubulamu bwafe obwabulijo? Obalyawo tubakiriza nokulowoza nti baamanyi nyo era banagwano ffe okubawangula.

Jukura Yesu atugamba nti: “mugume, nze mpangude ensi,” (Yokaana 16:33).

Daudi yakebera omuntu anatta Goliyasi kyanafuna. Yayagala ekimuletera obuvumu.

Mpulide kyetunafuna okuva eri mukama waffe omulungi, singa tuguma omutima netumalira okulaba “abalabe baffe nga omugaati,” (Kubal.14:9).

Kalebu yali musajja wakukiriza era yali mumalilivu okutwala Yeriko. Yali muwanguzi nokutukira dala kumyaka 85.

Leka tuyingize entegeera empya ku balabe bafe. Webatali tetuba nekyetuwangula. Basisinkane nobuwanguzi bwo’kukiriza (1 Yokaana.5:4) era balabe nga edaala erikwongerayo nge ebisubizo bya Katonga ebirungi enyo bwebiri ebyaffe.

Yebazibwe oyo Kulisto atuletera obuwanguzi,” (2 Kol. 2:14).